HAHAHA! Mu Uganda nze omu ku basinga, mukomye ebigambo, Sheilah Gashumba alaze lwaki bba God’s Plan amwagala nnyo

©GALAXY

Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba awadde bannayuganda enseko, bwe yekubidde akatale mu kiro ekikeseza olwaleero. Sheilah bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu UNCUT Sabula ne bba God’s Plan, agambye nti mu Uganda, y’omu ku bakyala abasinga emimwa emirungi, ekiwadde bba enseko. Mungeri y’emu agambye nti mu bulamu bwe takozesangako biragalaragala omuli enjaga, sisha wadde […]


Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba awadde bannayuganda enseko, bwe yekubidde akatale mu kiro ekikeseza olwaleero.
Sheilah bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu UNCUT Sabula ne bba God’s Plan, agambye nti mu Uganda, y’omu ku bakyala abasinga emimwa emirungi, ekiwadde bba enseko.

Mungeri y’emu agambye nti mu bulamu bwe takozesangako biragalaragala omuli enjaga, sisha wadde sigala, ekimukuumidde ku mutindo n’okukuuma emimwa nga girabika bulungi.

Sheilah azzeemu okulabula abantu ab’enjawulo, abagamba nti abadde aggyamu embutto z’abasajja ab’enjawulo. Agamba nti mu bulamu bwe tafunangako lubuto wadde okuggyamu olubuto lwona kyokka tamanyi lwaki abantu bamwogerako ebigambo.