73SharesPoliisi ekutte Taata myaka 45 ku misango gy’okutta omwana we mwaka gumu, olwa mukyala we okugaana okuddamu okumwagala. Wanyama John nga mutuuze ku kyalo Busiro A mu ggoombolola y’e Banda mu disitulikiti y’e Namayingo yakwattiddwa ku misango gy’okutta omwana we Namusisi Kirabo. Wanyama yakutte omwana namutuga namutta ku makya g’olunnaku Olwomukaaga nga 18, July, 2020 […]
Poliisi ekutte Taata myaka 45 ku misango gy’okutta omwana we mwaka gumu, olwa mukyala we okugaana okuddamu okumwagala.
Wanyama John nga mutuuze ku kyalo Busiro A mu ggoombolola y’e Banda mu disitulikiti y’e Namayingo yakwattiddwa ku misango gy’okutta omwana we Namusisi Kirabo.
Wanyama yakutte omwana namutuga namutta ku makya g’olunnaku Olwomukaaga nga 18, July, 2020 nga kivudde ku maama we, okugaana okumuddira okuzaala omwana omulala olw’obutakaanya obwaliwo ne bawukana.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Wanyama akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Eddoboozi lya Enanga