ESSANYU! Omubaka Zaake aliisa buti e Mityana, Gavumenti epondoose ku misango

©GALAXY

Omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake agiddwako emisango gyonna egibadde gimuvunaanibwa. Zaake yakwattibwa nga 19, Ogwokuna, 2020 okuva makaage ku kyalo Buswabulongo mu Monicipaali y’e Mityana ku bigambibwa nti yali agabira abatuuze emmere, ekyali kiyinza okusasaanya Covid-19. Mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esokerwako e Mityana, Zaake yaggulwako emisango 2 omuli obulagajjavu n’okugyemera amateeka g’omukulembeze […]


Omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake agiddwako emisango gyonna egibadde gimuvunaanibwa.

Zaake yakwattibwa nga 19, Ogwokuna, 2020 okuva makaage ku kyalo Buswabulongo mu Monicipaali y’e Mityana ku bigambibwa nti yali agabira abatuuze emmere, ekyali kiyinza okusasaanya Covid-19.

Mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esokerwako e Mityana, Zaake yaggulwako emisango 2 omuli obulagajjavu n’okugyemera amateeka g’omukulembeze w’eggwanga.

Wabula Ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Frances Abodo awandikidde omulamuzi wa kkooti esokerwako e Mityana Moses Kule nga Zaake agiddwako emisango gyonna awatali nsonga eweereddwa.