Palamenti ekutte omuliro akawungeezi ka leero mu kuteesa ku nsonga z’abasuubuzi abasobeddwa eka ne mu kibira mu Kampala. Abasuubuzi, bagamba nti Balandiloodi balemeddeko okubanja ssente z’obupangisa emyezi 4 gye bakulungudde nga bali ku muggalo nga n’abasuubuzi bagamba nti, tebayinza kuwa ssente za bupangisa, ebbanga lye bakulungudde nga tebakola. Embeera eyo, eviriiddeko okwerangira ebisongovu, Balandiloodi ne […]
Palamenti ekutte omuliro akawungeezi ka leero mu kuteesa ku nsonga z’abasuubuzi abasobeddwa eka ne mu kibira mu Kampala.
Abasuubuzi, bagamba nti Balandiloodi balemeddeko okubanja ssente z’obupangisa emyezi 4 gye bakulungudde nga bali ku muggalo nga n’abasuubuzi bagamba nti, tebayinza kuwa ssente za bupangisa, ebbanga lye bakulungudde nga tebakola.
Embeera eyo, eviriiddeko okwerangira ebisongovu, Balandiloodi ne baggala amaduuka gaabwe okutuusa nga abasuubuzi bakkiriza okuwaayo ssente z’obupangisa.
Kati no mu Palamenti akawungeezi ka leero, abakiise ba Palamenti bakangudde ku ddoboozi nga bagamba nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aggwanidde okuvaayo okuyamba abasuubuzi ku nsonga ya ssente ez’obupangisa.

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga, omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko n’abalala, balemeddeko nga bagamba nti Gavumenti eremeddwa okuyamba abasuubuzi nga bangi baddukira mu maka gaabwe okutaasibwa ku Balandiloodi abaagala ensimbi zaabwe nga bagaanye okuggula amaduuka.
Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa asaanze akaseera akazibu, okuwolereza mukama we era omukulembeze w’eggwanga Museveni ku nsonga ya Balandiloodi ng’omubaka Nsereko, Kasibante Moses n’abalala, balemeddeko, nga bagamba abasuubuzi tebayambiddwa.

Nankabirwa one
Mungeri y’emu Nankabirwa agambye nti tewali ngeri yonna Pulezidenti Museveni, gy’ayinza okulemesa Balandiloodi okusolooza ssente z’obupangisa nga nabo balina ebizibu.
Wabula sipiika Kadaga akangudde ku ddoboozi era amutabukidde, bw’amujjukiza nti Gavumenti erina okuvaayo ku nsonga y’abasuubuzi era amulagidde okuddayo eri Kabinenti okuddamu okugitesaako.
Nankabirwa Two

Ku nsonga y’abasuubuzi ne Balandiloodi, oluvudde mu Palamenti, omubaka Nsereko ayogedde naffe era agambye nti Gavumenti yafuna obuyambi okuva ne mu nsi z’ebweru okuyambako abantu abanyigiriziddwa olwa Covid-19 kyokka tewali kikoleddwa.
Omubaka Nsereko