Jamil Mukulu eyali akulira abayeekera ba kabinja ka ADF asabye kkooti y’omulamuzi Suzan Okalany mu kkooti enkulu mu Kampala okuggyayo okusaba kwe, yateekayo ng’ayagala okweyimilirwa. Mukulu abadde ku limanda mu kkomera e Luzira okumala emyaka etaano (5) ng’avunaanibwa emisango omuli okwokya ettendekero lye Kichwamba omwafiira abayizi 80 mu 1998, okwenyigira mu bikolwa by’obuyeekera, obutujju, okutumbula […]
Jamil Mukulu eyali akulira abayeekera ba kabinja ka ADF asabye kkooti y’omulamuzi Suzan Okalany mu kkooti enkulu mu Kampala okuggyayo okusaba kwe, yateekayo ng’ayagala okweyimilirwa.
Mukulu abadde ku limanda mu kkomera e Luzira okumala emyaka etaano (5) ng’avunaanibwa emisango omuli okwokya ettendekero lye Kichwamba omwafiira abayizi 80 mu 1998, okwenyigira mu bikolwa by’obuyeekera, obutujju, okutumbula ebikolwa by’obutujju, okubba, okutta abasirikale ba Poliisi 2 poliisi ye Bugiri e Busoga, okutta Abasiraamu n’emisango emirala.
Enkya ya leero bannamateeka ba Mukulu nga bakulembeddwamu Anthony Wameli ne Geoffrey Turyamusiima basabye omulamuzi okuggayo okusaba kwabwe Mukulu okusigala mu kkomera okutuusa ng’emisango gye, atandiise okwewozaako.
Mukulu ng’asinzidde mu kkomera e Luzira ku nkola ya “Video Conferencing”, bannamateeka be bagambye nti omuntu waabwe takyetaaga kweyimirirwa nga kigambibwa simumativu n’omulamuzi ali mu musango gwe.
Omulamuzi asoose mu kafubo ne bannamateeka ba Mukulu ssaako n’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Marion Ben- Bella omutakiriziddwa bannamawulire, oluvanyuma akkirizza okusaba kwa Mukulu okuggyayo okusaba kwe.