Kyaddaki munnamawulire wa NBS TV Zahara Nalumansi amanyikiddwa nga Zahara Totto alaze lwaki ali mu laavu n’omulenzi Reuben Robert. Kigambibwa Reuben ye nnanyini University of Pain Fitness Foundation ate mbu alina Kampuni za ‘betting’ mu Uganda. Sabiti eno, Zahara yavuddeyo okulaga ensi nti ali mu laavu ne Reuben oluvanyuma lw’okwawukana ne Don Solomon. Wabula Zahara, […]
Kyaddaki munnamawulire wa NBS TV Zahara Nalumansi amanyikiddwa nga Zahara Totto alaze lwaki ali mu laavu n’omulenzi Reuben Robert.
Kigambibwa Reuben ye nnanyini University of Pain Fitness Foundation ate mbu alina Kampuni za ‘betting’ mu Uganda.
Sabiti eno, Zahara yavuddeyo okulaga ensi nti ali mu laavu ne Reuben oluvanyuma lw’okwawukana ne Don Solomon.

Wabula Zahara, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi lwaki Reuben ye musajja yekka mu kiseera kino ali ku ntobo y’omutima gwe.
Zahara agambye nti, “Oohh Bby I cant leave without you nga sinafa, Mbu wama bino byebibaluma?“.

Ebigambo bya Zahara biraga nti waaya ya Reuben yamutuuse mu busomyo nasiima era teyejjusa kwawukana na Solomon.