Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga asambaze ebyogerwa n’ebiyitingana nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mulwadde Muyi era mbu yawereddwa ekitanda mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi. Katikkiro agamba nti okuva sabiti ewedde, amawulire gabadde gayitingana ku mikutu migattabantu omuli Face Book nga Bbeene bw’ali mu mbeera embi nga yetaaga esaala z’abantu be. […]
Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga asambaze ebyogerwa n’ebiyitingana nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mulwadde Muyi era mbu yawereddwa ekitanda mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.
Katikkiro agamba nti okuva sabiti ewedde, amawulire gabadde gayitingana ku mikutu migattabantu omuli Face Book nga Bbeene bw’ali mu mbeera embi nga yetaaga esaala z’abantu be.

Wabula mu kwogerako eri Obuganda ng’asinzira ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, Mukuumaddamula Mayiga asambaze ebyogerwa nti Maaso Moogi yaweereddwa ekitanda era agambye nti Kabaka ali mu mbeera nnungi ddala, alambula abantu be.
Munnamateeka Mayiga, akakasizza Obuganda bwonna nti Ssaabasajja Kabaka ateredde nteende era alamula bulungi Obuganda.
Mayiga One
Mungeri y’emu Mayiga agambye nti abantu omuli abatalina mirimu, abafere n’abanywi b’enjaga bakoze kinene okusiiga Obuganda enziro olw’okuba balina obudde obungi ku ‘Social Media’.
Mayiga Two