Kkooti eyongezzaayo okuwuliriza emisango egivunaanibwa Lt Gen Henry Tumukunde omulundi ogusembayo. Tumukunde ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okusangibwa neby’okulanyisa mu ngeri emenya amateeka. Omulamuzi Valerian Tuhimbise owa City Hall mu Kampala alangiridde okusuula emisango mu kasero singa oludda oluwaabi, lunaalemwa okuleeta obujulizi obwetaagisa. Tumukunde, eyaliko Minisita w’ebyokwerinda alagiddwa okudda mu kkooti nga 23, […]
Kkooti eyongezzaayo okuwuliriza emisango egivunaanibwa Lt Gen Henry Tumukunde omulundi ogusembayo.
Tumukunde ali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okusangibwa neby’okulanyisa mu ngeri emenya amateeka.
Omulamuzi Valerian Tuhimbise owa City Hall mu Kampala alangiridde okusuula emisango mu kasero singa oludda oluwaabi, lunaalemwa okuleeta obujulizi obwetaagisa.
Tumukunde, eyaliko Minisita w’ebyokwerinda alagiddwa okudda mu kkooti nga 23, November, 2020.
Wabula ne Tumukunde nga akulembeddwamu bannamateeka be Geoffrey Turyamusiima ne Anthony Wameli, basabye omulamuzi omusango okugobwa olwa Gavumenti okulemwa okufuna obujjulizi okuva mu Gwokusatu 2020 nga bekwasa ensonga za Covid-19.
Eddoboozi lya Wameli