168SharesKyaddaki Gavumenti efulumizza Pulogulaamu y’ebigezo eby’akamalirizo eri abayizi ba P7, S4 ne S6 mu ggwanga. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalangiridde nti abayizi aba P7, S4, S6 ne kumatendekero agawagulu abali mu mwaka ogusembayo, balina okudda ku massomero nga 15, October, 2020. Wabula ku ntekateeka efulumiziddwa, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kigenda […]
Kyaddaki Gavumenti efulumizza Pulogulaamu y’ebigezo eby’akamalirizo eri abayizi ba P7, S4 ne S6 mu ggwanga.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalangiridde nti abayizi aba P7, S4, S6 ne kumatendekero agawagulu abali mu mwaka ogusembayo, balina okudda ku massomero nga 15, October, 2020.
Wabula ku ntekateeka efulumiziddwa, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kigenda kutandikirawo nga 16, October, 2020 okuwandiika abayizi abanaakola ebigezo okumala wiiki ttaano (5).
Aba P7 bakutuula ebigezo byabwe okuva nga 20, March, 2021 okutuusa nga 31, March, 2021, aba S4 batandike nga 1, March, 2021 okutuusa nga 6, April, 2021 ate aba S6 okuva nga 12, April, 2021 okutuusa nga 3, May, 2021.

Okusinzira ku minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga, Janet Kataaha Museveni, abayizi bageenda kuddayo mu taamu eyookubiri okuva nga 15, October, 2020 okutuuka nga 18, December, 2020 ate taamu eyookusatu okuva nga 11, January, 2021 okutuuka nga 30, April, 2021.
Minisita Kataaha era agamba nti abayizi bonna abali awaka bagenda kusigala nga basomera waka ku TV ne laadiyo, omwaka ogujja ogwa 2021 bajja kuddayo ku masomero okukola ebigezo ebibatwala mu bibiina ebiddako kyokka okuddayo Gavumenti ejja kusinzira ku ngeri abayizi ba aba P7, S4, S6 ne kumatendekero agawagulu abali mu mwaka ogusembayo engeri gye banaagoberera amateeka mu kulwanyisa Covid-19.
Abayizi bonna abagenda okuddayo ku masomero, Gavumenti esuubiza okubawa masiki bbiri (2) buli omu okusobola okwetangira Covid-19.