Ababbi ate nga batemu, basse omusuubuzi omugundivu mu disitulikiti y’e Kakumiro ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ekikeseza olunnaku olwaleero. Simon Atagwireho ali mu gy’obukulu 60 abadde musuubuzi mu katawuni k’e Kihuna mu ggoombolola y’e Kakindo era attiddwa bw’abadde addayo awaka mu katawuni k’e Kitabona. Abatemu, bamusangiriza okumpi ne dduuka lye ng’ali ku Pikipiki ye ne […]
Ababbi ate nga batemu, basse omusuubuzi omugundivu mu disitulikiti y’e Kakumiro ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ekikeseza olunnaku olwaleero.
Simon Atagwireho ali mu gy’obukulu 60 abadde musuubuzi mu katawuni k’e Kihuna mu ggoombolola y’e Kakindo era attiddwa bw’abadde addayo awaka mu katawuni k’e Kitabona.
Abatemu, bamusangiriza okumpi ne dduuka lye ng’ali ku Pikipiki ye ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe emirundi egiwera era agudde wansi okutuusa lw’afudde.
Omulambo, gulabiddwa abatuuze wakati mu kitaba ky’omusaayi era amangu ddala Poliisi eyitiddwa.
Oluvanyuma lw’okuttibwa, abatemu basobodde okutwala pikipiki ye namba UEU 880D Bajaj ssaako ne ssente ezitamanyiddwako muwendo.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine Julius Hakiza agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro okwekebejjebwa nga ne Poliisi bw’enoonya abatemu.
Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza okusookerwako, kulaga nti abatemu baludde nga balondoola omusuubuzi Atagwireho okutuusa lw’attiddwa.
Ate abatuuze wakati mu kuyungula amaziga, bawanjagidde Poliisi okunoonya abatemu abenyigidde mu kutta mutuuze munaabwe.