AUDIO! Vuvuzera etabudde abasajja olwa waaya zaabwe okukuba saluti mu kiro kimu, omusaayi guyiise

©GALAXY

Poliisi y’e Kasangati etandiise okunoonyereza ku ssemaka attiddwa ku kyalo Kiyunga mu ggombolola y’e Kyampisa mu disitulikiti y’e Mukono. Omulambo gwa Kiwango Hassan myaka 45 nga musuubuzi wa mbaawo gulabiddwa abatuuze, abakedde okutambuza emirimu gyabwe ne batemya ku Poliisi mu bwangu. Kiwango kati omugenzi, mukyala we yagenda ku kyeyo mu ggwanga erya Saudi Arabia. Wabula […]


Poliisi y’e Kasangati etandiise okunoonyereza ku ssemaka attiddwa ku kyalo Kiyunga mu ggombolola y’e Kyampisa mu disitulikiti y’e Mukono.

Omulambo gwa Kiwango Hassan myaka 45 nga musuubuzi wa mbaawo gulabiddwa abatuuze, abakedde okutambuza emirimu gyabwe ne batemya ku Poliisi mu bwangu.

Kiwango kati omugenzi, mukyala we yagenda ku kyeyo mu ggwanga erya Saudi Arabia.

Wabula Poliisi egamba nti Hakim Katende nga naye abadde mutuuze ku kyalo kye kimu, abadde alumiriza Kiwango okwagala mukyala we Dorothy Birungi era bagenze okunoonyereza, nga ne Katende yattiddwa.

Hakim Katende ne Dorothy Birungi
Hakim Katende ne Dorothy Birungi

Emirambo gyombi, girese abatuuze nga bali mu ntiisa era Sophia Kigundu, muganda w’omugenzi Kiwango, awanjagidde Poliisi okunoonyereza abenyigidde mu kutta muganda we.

Eddoboozi lya Sophia

Ate ssentebbe w’ekyalo Douglas Ssekalegga agamba nti abasajja bombi, baludde nga balina obutakaanya ku nsonga z’omukyala, okutuusa bonna webattiddwa.

Agamba nti olunnaku olwaleero, ensonga zibadde zigenda mu bakulembeze ba ddiini, okuzigonjoola, ekintu ekitasobose.

Kiwango alese abaana 2 okuli myaka 4 ne 12 era emirambo gyombi, gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kayunga okwekebejjebwa.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.