Abakyala abatunda omukwano zzooni ya Ddobbi e Makerere mu ggombolola y’e Kawempe, abakazibwako ba ‘Neko’ balambuludde ensonga ezibasindikiriza okwegatta okunoonya ensimbi okwebezaawo. Banno nga bakulembeddwamu Namwanje Sarah, bagambye nti basajja baabwe, tebasobola kubatusaako byetaago, ekibasindikiriza okwetunda okunoonya akasente okutambuza obulamu omuli okutwala abaana ku masomero, okufuna eky’okulya, okubajjanjabisa ssaako n’okubambaza. Namwanje agambye nti mu kwetunda, […]
Abakyala abatunda omukwano zzooni ya Ddobbi e Makerere mu ggombolola y’e Kawempe, abakazibwako ba ‘Neko’ balambuludde ensonga ezibasindikiriza okwegatta okunoonya ensimbi okwebezaawo.
Banno nga bakulembeddwamu Namwanje Sarah, bagambye nti basajja baabwe, tebasobola kubatusaako byetaago, ekibasindikiriza okwetunda okunoonya akasente okutambuza obulamu omuli okutwala abaana ku masomero, okufuna eky’okulya, okubajjanjabisa ssaako n’okubambaza.
Namwanje agambye nti mu kwetunda, bafunye okusomoozebwa okwenjawulo omuli okufuna embutto mu basajja abatamanyiddwa, nga balina kuzigyamu nga beyambisa engeri zonna, ekivuddeko ne banaabwe okufa.
Agamba nti, waliwo n’abasajja abanyumirwa okusinda omukwano kyokka nga teebagala, kusasula, ekyongedde okubanyigiriza.
Ate ku nsonga y’okunoonya emirimu, okusinga okudda mu kwetunda Namwanje agambye nti KCCA okusindikiriza abatembeyi abali ku nguudo y’emu ku nsonga lwaki batya okuyingira emirimu gy’okulenga ennyanja, obutungulu oba engoye ne basigala mu kwetunda okuyingiza ensimbi wakati mu kusanyuka awatali kapito.
Namwanje one Final
Namwanje mungeri y’emu alambuludde ku ngeri, gye yali agenda okufa, olw’okugyamu olubuto.
Agamba nti amakerenda geyamira n’okusonseka mu bitundu by’ekyama, y’emu ku nsonga lwaki ali amaziga n’okutuusa olunnaku lwaleero.
Namwanje agamba nti wadde olubuto lw’avaamu, anoonyeza olubuto kati emyaka gigenda mwe 5.
Namwanje Two Final