AUDIO! Olutalo mu bayimbi ba NRM, Catherine Kusaasira ‘Minisita w’amabugo’ akubidde Pulezidenti Museveni ekyasi ky’oluyimba lwa Kampeyini, Bebe Cool ne Mayinja bavudde ku maapu

©GALAXY

68SharesOkuvuganya kweyongedde eri abayimbi, abali mu kibiina ki NRM, nga beyongedde okuyiiya ennyimba, ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni lwasobola okweyambisa mu Kampeyini ze, ezitandiise enkya ya leero. Museveni yazzeemu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino era nga abantu 10, bebavuddeyo okumulemesa okudda mu ntebe mu kulonda okubindabinda okwa 2021. Wabula mu kiseera […]


Okuvuganya kweyongedde eri abayimbi, abali mu kibiina ki NRM, nga beyongedde okuyiiya ennyimba, ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni lwasobola okweyambisa mu Kampeyini ze, ezitandiise enkya ya leero.

Museveni yazzeemu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino era nga abantu 10, bebavuddeyo okumulemesa okudda mu ntebe mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Wabula mu kiseera kino, Omuyimbi Catherine Kusaasira gwe bakazaako erya Minisita w’amabugo afulumizza oluyimba, okuvuganya olwa Bebe Cool ‘Mwongede Akalulu’, Ronald Mayinja Mzee ssaako n’abalala, abafulumiza ennyimba, okufuna omukisa okusembera ku Kampeyiniza Mukulu Museveni.

Kusasira agamba nti ku bigenda maaso mu ggwanga n’ebirungi ebituukiddwako, Museveni, yagwanidde okudda mu ntebe, okulembera eggwanga lino.

Mu luyimba, Kusasira agamba nti okuzimba Uganda, Museveni ye mutuufu okudda mu ntebe.

Audio