262SharesBya Nalule Aminah Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja Kamoga Eria ku misango gy’okutta omwana myaka 9 Lubega Grace akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo. Kamoga yakutte ejjambiya, nateemateema omwana namugyako omutwe, omukono olw’ensonga etamanyiddwa. Oluvanyuma, yakutte ekiwuduwudu ky’omwana nakisula mu mwala gwe Nakarere e Bulindo mu Monisipaali y’e Kira. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango agamba nti […]
Bya Nalule Aminah
Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja Kamoga Eria ku misango gy’okutta omwana myaka 9 Lubega Grace akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Kamoga yakutte ejjambiya, nateemateema omwana namugyako omutwe, omukono olw’ensonga etamanyiddwa.
Oluvanyuma, yakutte ekiwuduwudu ky’omwana nakisula mu mwala gwe Nakarere e Bulindo mu Monisipaali y’e Kira.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango agamba nti oluvanyuma lw’omwana okuttibwa abazadde okuli maama Pasita Male Robinah nga batuuze ku kyalo Nakweru B, Kasangati baddukidde ku Poliisi okuyambibwa okunoonya omutemu.
Onyango agamba nti amangu ddala nga Kamoga akwattiddwa, akulembeddemu Poliisi okubatwala mu mwala gwe yasuddemu ebitundu by’omwana wabula ekyembi, wadde ekiwuduwudu kizuuliddwa, omutwe n’omukono bikyabuze.
Kiteeberezebwa nti omutwe n’omukono byatwaliddwa amazzi wabula Poliisi esuubiza okubinoonya.
Kamoga atwaliddwa ku Poliisi y’e Kasangati ku misango gy’okutta omwana.