Owa bodaboda nga mutuuze we Kamwokya eyakubiddwa kalifoomu ekyagaanye okudda engulu kati ennaku ziweze 4 ng’ali mu nnyumba era famire ye esobeddwa. Sharif Muramuzi myaka 25 yapangisibwa abasabaze okuva e Kamwokya okubatwala e Mpererwe sabiti ewedde ku Lwokuna ku pikipiki ye ekika kya Bajaj Boxer namba UFA 432D. Kigambibwa webatuuka e Mpererwe, bamutwala ku dduuka […]
Owa bodaboda nga mutuuze we Kamwokya eyakubiddwa kalifoomu ekyagaanye okudda engulu kati ennaku ziweze 4 ng’ali mu nnyumba era famire ye esobeddwa.
Sharif Muramuzi myaka 25 yapangisibwa abasabaze okuva e Kamwokya okubatwala e Mpererwe sabiti ewedde ku Lwokuna ku pikipiki ye ekika kya Bajaj Boxer namba UFA 432D.
Kigambibwa webatuuka e Mpererwe, bamutwala ku dduuka okufuna eby’okunywa era yaweebwa ssooda omwali muteekeddwa kalifoomu era weyakoma okutegeera, pikipiki ne bagitwala.
Muganda wa Muramuzi, Aniber Asiimwe agamba nti yafuna ssimu okubategeeza nti omuntu waabwe ali mu mbeera mbi, era asemberedde okufa singa tebayanguwa.
Eddoboozi lya Assimwe
Okuva sabiti ewedde, Muramuzi ali mu kazigo ke e Kamwokya, abasawo bakola kyonna okutaasa obulamu.
Mukyala w’omulwadde Sarah Nuwabiine ng’asembedde okuzaala ali ku myezi munaana (8) agamba nti bba, bakoze buli kimu okudda engulu naye bikyagaanye.
Awanjagidde abazirakisa abayinza okumutaasa, okuvaayo mu kiseera kino.