AUDIO! Ssaabasumba Lwanga abotodde ebyama ku by’okutta Bobi Wine n’obutwa mu kkereziya, alabudde eggwanga ku kiddako

©GALAXY

312SharesEkkereziya esambaze ebyogerwa nti yalina entekateeka z’okutta Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga bayita mu kweyambisa obutwa. Okusinzira ku Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, amawulire gaali gatambuzibwa nti Ekkereziya egenda kuteeka obutwa ku kagaati mu kiseera nga Kyagulanyi agenze okusembera, obuyinza okumutta. Ssaabasumba Lwanga asinzidde mu kusaba […]


Ekkereziya esambaze ebyogerwa nti yalina entekateeka z’okutta Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga bayita mu kweyambisa obutwa.

Okusinzira ku Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, amawulire gaali gatambuzibwa nti Ekkereziya egenda kuteeka obutwa ku kagaati mu kiseera nga Kyagulanyi agenze okusembera, obuyinza okumutta.

Ssaabasumba Lwanga asinzidde mu kusaba kwa leero ku lutikko e Rubaga okulabula, abantu okomya okutambuza amawulire agasiiga obukyayi.

Agamba nti tewali ngeri yonna ekkanisa gy’eyinza kutta muntu nga beyambisa obutwa ate Kyagulanyi musajja wa ddiini nnyo nga ne ku mbaga ye ne kabiite we Barbie Kyagulanyi, yakulemberamu okubagatta.

Awanjagidde bannayuganda okukomya okutambuza ebigambo eby’obulimba, ebiyinza okutabangula eggwanga.

Ssaabasumba Lwanga

Ssaabasumba Lwanga abyogeredde mu maaso Kyagulanyi omu ku bakedde okwetaba mu kusaba n’okwebaza Omutonzi okuyingira omwaka omuggya ogwa 2021.

Mungeri y’emu Ssaabasumba Lwanga awadde Kyagulanyi ekitabo ekitukuvu, ekiwadde essanyu ekkereziya yonna.