Bannakampala abasukka 100, omwaka 2021, baguyingidde bali makkomera mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo. Okusinzira ku Poliisi, abakwattiddwa basangiddwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu, mu bbaala nga bali mu kunywa ssaako n’abamu nga bali mu kulya ku ssente zaabwe mu bifo ebisanyukirwamu. Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abakwate baguddwako emisango […]
Bannakampala abasukka 100, omwaka 2021, baguyingidde bali makkomera mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Okusinzira ku Poliisi, abakwattiddwa basangiddwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu, mu bbaala nga bali mu kunywa ssaako n’abamu nga bali mu kulya ku ssente zaabwe mu bifo ebisanyukirwamu.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abakwate baguddwako emisango egy’enjawulo omuli okumenya amateeka n’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Onyango agamba nti abakwate essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okusunsulwamu era nga bali mu Poliisi ez’enjawulo.