ANTI KALE! Wuuno taata akwattiddwa ku by’okulya okutu kwa mutabani we, obuzibu bwa vuvuzera kulemesa waaya kusanyuka

©GALAXY

Poliisi y'e Kabale eri mu kunoonyereza ku ngeri taata Francis Agaba gy'akkidde mutabani we Denham Owamani namulumako okutu


Poliisi y’e Kabale eri mu kunoonyereza ku ngeri taata gy’akkidde mutabani we namulumako okutu.
Taata Francis Agaba nga yakulira abasomesa ku Bunagana Primary School mu ggoombolola y’e Kamuganguzi mu disitulikiti y’e Kabale yakwattiddwa ku misango gy’okudda ku mutabani we Denham Owamani myaka 22 namulumako okutu.
Kigambibwa, olw’obutakaanya wakati wa ssemaka ne mukyala we, kyavuddeko okulwanagana era omwana Owamani yavuddeyo okutaasa, ekyavuddeko kitaawe okunyiiga namulumako okutu era yamulese atonnya musaayi.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza.