ENTIISA! Ekiri e Wakiso abatuuze bali mu maziga, wuuno omuvubuka Mukwano gw’abangi attiddwa mu bukambwe

©GALAXY

Omulambo gwa Ssemugenyi Hakim myaka 25 gusangiddwa nga gusibiddwa omuguwa ku jjinja eddembe nga guseyeeya ku mazzi mu Wakiso


Poliisi ekutte abantu musanvu (7) ku by’okutta Ssemugenyi Hakim myaka 25 abadde omutuuze ku kuzinga kye Kava-Ennyanja mu ggoombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omulambo gwa Ssemugenyi gusangiddwa nga gusibiddwa omuguwa ku jjinja eddembe nga guseyeeya ku mazzi Ku kizinga kye Ranoma e Kava-Ennyanja.

Abamu ku batuuze wakati mu kulukusa amaziga, bagamba nti Ssemugenyi baakoma okumulabako nga 25, omwezi oguwedde Ogwokubiri, ng’ali ne mikwano gye nga bagenda okuvuba.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti Poliisi, etandikiddewo okunoonyereza era amangu ddala abantu 7 bakwattiddwa.

Owoyesigyire agamba nti abakwate, balabwako nga bali n’omugenzi ku lunnaku abatuuze lwe baakoma okumulabako.