Ekereziya efulumizza entekateeka y’okuziika abadde Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 3, April, 2021 nga yasangiddwa mu buliri mu makaage e Rubaga nga yafiiridde mu buliri ku myaka 68. Okusinzira ku mawulire, Lwanga kigambibwa yafudde nga obuzibu buvudde ku mutima. Wabula ekkereziya efulumiza entekateeka z’okuziika Dr. […]
Ekereziya efulumizza entekateeka y’okuziika abadde Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 3, April, 2021 nga yasangiddwa mu buliri mu makaage e Rubaga nga yafiiridde mu buliri ku myaka 68.
Okusinzira ku mawulire, Lwanga kigambibwa yafudde nga obuzibu buvudde ku mutima.
Wabula ekkereziya efulumiza entekateeka z’okuziika Dr. Kizito Lwanga newankubadde ziyinza okukyukamu.
Enkya ku Mmande nga 5, April, 2021 ku ssaawa 4 ez’okumakya ku Lutiiko e Lubaga, bategese okusaba okwenjawulo nga tebalina mulambo.
Ku lunnaku Olwokubiri nga 6, April, 2021, omulambo gugenda kugibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago, gutwalibwe mu maka ga bazadde be ku kyalo Kyabakadde ku luguudo lwe Gayaza.
Ku ssaawa 4 ez’okumakya, bategese okusabira omwoyo gw’omugenzi ate omulambo gugenda kusulayo.
Mu ngeri y’emu Pulogulamu eraga nti ku Lwokusatu nga 7, April, 2021, omulambo gugenda kutwalibwa ku Lutiiko e Lubaga era ku ssaawa 4 ez’okumakya, baddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi ssaako n’abantu okufuna omukisa okukuba eriiso evanyuma ku mulambo.
Entekateeka eraga nti Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga agenda kuziikibwa ku Lwokuna e Lubaga okumpi ne Lutiiko ng’ekitambiro kya Mmisa kyakutandiika ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Tukitegeddeko nti Pulogulamu y’okuziika Lwanga esindikiddwa eri Paapa Francis era y’emu ku nsonga lwaki bagisuubira nti eyinza okukyukamu.
Ate abatuuze ku kyalo Kyabakadde bali mu maziga oluvanyuma lw’okuwulira okufa kwa mutuuze munnaabwe Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga era bano basazeewo okukunganira ku e Kereziya esangibwa ku kyalo kino oluvanyuma lwa poliisi ssaako n’amaggye okugaana omuntu yenna okukungaanira mu maka ge agasangibwa ku kyalo kino.
Abatuuze bagamba nti kikyamu ebitongole ebikuuma ddembe okulemesa abantu okungubaga era basazeewo okugenda ku kereziya y’oku kyalo okulaga enyike olwa Dr. Lwanga okufa.
Ate Gavumenti ya Uganda erabudde bannayuganda okukomya okutambuza ebigambo ku nfa ya Ssaabasumba Lwanga wabula okulinda abasawo okufulumya amawulire amatongole.
Okusinzira ku Minisita w’ensonga z’amawulire Judith Nabakooba, amawulire amakyamu gayinza okutabangula emitima gy’abantu mu kiseera kino eky’okukungubaga.
Mungeri y’emu asabye abantu okusigala nga bakakamu, okuwa abasawo akadde okunoonyereza ku kyavuddeko Ssaabasumba Lwanga okusangibwa ng’afiiridde mu buliri.