BAMBI! Ddereeva wa Takisi abadde alinda ssente za PM Nabbanja 100,000 attiddwa, kabiite we azirise

©GALAXY

Ddereeva wa Takisi, abadde agenze okusima omusenyu, okunoonya eky’okulya afiiridde mu kirombe mu disitulikiti y’e Luweero, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero. Richard Magunda myaka 25 ng’abadde avugira mu Kampala, yafiiridde mu kirombe ky’omusenyu ku kyalo Kisanga mu ggoombolola y’e Bamunanika. Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Kisanga, Robert Kavuma, Magunda kati omugenzi yavudde mu Kampala okudda […]


Ddereeva wa Takisi, abadde agenze okusima omusenyu, okunoonya eky’okulya afiiridde mu kirombe mu disitulikiti y’e Luweero, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Richard Magunda myaka 25 ng’abadde avugira mu Kampala, yafiiridde mu kirombe ky’omusenyu ku kyalo Kisanga mu ggoombolola y’e Bamunanika.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Kisanga, Robert Kavuma, Magunda kati omugenzi yavudde mu Kampala okudda e Luweero okunoonya eky’okulya olw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuzza abantu ku muggalo ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19, okweyongera okusasaana.
Mu Kampala abadde avuga takisi kyokka bwe yagenze mu kyalo, yabadde alina okunoonya engeri y’okutambuza obulamu.

Bw’agenze okusima omusenyu okunoonya akasente, omusenyu gumuziikidde mu kinnya era abatuuze bagenze okutuuka, okumuggyayo nga z’embuyaga ezikunta.

Ssentebe agamba nti Poliisi y’e Bamunanika etandiise okunoonyereza ku ngeri mutuuze munaabwe gyafuddemu.

Okusinzira ku offiisi ya ssaabaminisita Robinah Nabbanja, aba Takisi bali ku ‘List’ y’abantu abalina okufuna ku ssente 100,000 okubayambako mu kiseera kino eky’omuggalo gw’ennaku 42 ez’okulwanyisa Covid-19.
Magunda abadde akolera mu Kampala era y’omu ku baddereeva ababadde abalinda ssente za Nabbanja wabula kati afudde.

Ate Gavumenti ekyalemeddwa okusindikira abasawo mu disitulikiti y’e Kitgum ssente zaabwe ez’akasiimo, abali ku ddiimu ly’okulwanyisa Covid-19.
Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’obutonde, eyali munna Forum for Democratic Change-FDC Beatrice Atim Anywar, abasawo bakulungudde emyezi egiwera, nga tebafuna wadde 100 ku ssente z’akasiimo era bangi nga bawaddemu essuubi, ly’obutafuna nsimbi wakati mu kulwanyisa obulwadde.
Abasawo, bagamba nti baakoma okufuna akasiimo omwaka oguwedde nga bakulungudde emyezi munaana (8) nga tebafuna wadde 100.

Beatrice Atim Anywar

Kati no Minisita Anywar, asobodde okukomyawo essanyu ly’abasawo ng’asobodde okukwata ku ssente ze obukadde 5, okuwa abasawo ssente z’akasiimo okusinga okudda mu kulinda Gavumenti ekyali mu kusuubiza.
Minisita Anywar agamba nti wadde akutte ku ssente ze, ssente z’abasawo Gavumenti ezimanyi bulungi ddala era essaawa yonna zigenda kubatuukako.
Mungeri y’emu agamba nti mu bajeti y’omwaka 2021 – 2022, Gavumenti yataddewo ensimbi, okulongoosa embeera y’abasawo.
Ku nsonga eyo, akulira eddwaaliro ekkulu e Kitgum, Dr Geoffrey Okello agamba nti abasawo, betaaga n’ebikozesebwa mu kwetangira okulwala, bakola obudde buwanvu, okutya mu kujanjaba Covid-19 ate ng’akasiimo, bakaliinze tekalabikako.