AUDIO! Abayizi ku yunivasite mugume, Minisitule y’ebyenjigiriza ebotodde ekyama ku nsomesa empya wakati mu Covid-19

©GALAXY

AUDIO! Abayizi ku yunivasite mugume, Minisitule y'ebyenjigiriza ebotodde ekyama ku nsomesa empya wakati mu Covid-19 mu ggwanga


Abayizi ku Yunivasite e Kyambogo bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, abayizi okudda ku yunivasite okusinga emisomo gyabwe okutemerwako ettaka.

Abayizi bano, bagamba nti Gavumenti ekyalemeddwa okulaga entekateeka yonna y’abayizi okudda ku massomero ebbanga lye bakulungudde nga bali ku muggalo.

Nga basinzira ku Yunivasite e Kyambogo, bagamba nti bangi ku bayizi abawala bafunye embutto olw’embeera, abamu baweddemu essuubi, waliwo abayizi abasobezeddwako wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Abayizi, basabye Gavumenti okwongera amaanyi mu kulaga nti bagema abantu, kibanguyize okudda ku massomero.

Ate ye akulembera abayizi ku Yunivasite e Kyambogo Mbaziira John Senior, agamba nti olw’embeera, bangi ku bayizi tebagenda kudda ku massomero.

Mbaziira mu ngeri y’emu agamba nti Yunivasite yalemwa okuteekawo embeera, esobozesa okusomesa abayizi ku mitimbagano, kyokka ekyewunyisa abaliwo abasomesa abalemeddeko okweyambisa emitimbagano.

Ate omwogezi wa Minisitule y’ebyenjigriza n’ebyemizannyo Patrick Muinda agamba nti mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, abayizi balina okusoosowaza enkola ez’okusomera ku mitimbagano.

Patrick Muinda

Muinda awanjagidde abazadde okuyamba ku bayizi ne ssente eza Data, kibanguyize okutambuza emisomo gyabwe nga bali ku mitimbagano.

Agamba ekya bayizi okudda ku Yunivasite mu kibiina kiyinza okuba ekizibu, nga kiyinza okutambuza Covid-19.

Eddoboozi lya Muinda

Abatuuze mu zzooni y’e Kyamuka e Kamwokya bakyalinda Gavumenti okubaduukirira nga bangi ku bo tebasigaza kintu kyonna.

Abatuuze bano sabiiti ewedde ku Lwokuna ku ssaawa ng’emu (7:00PM) eyakawungeezi, omuliro gwasanyawo amayumba gaabwe.

Bazzeemu okuzimba

Wadde mangi ku mayumba gaali ga mbaawo, tebasigaza kintu kyonna nga byonna byafuuka vvu omuli emifaliso, engoye, ttiivi, firiigi ssaako n’ebintu ebirala era abantu babiri (2) tebasimatuka nga baafa.

Mu kiseera kino, abatuuze bazeemu okuzimba nga beyambisa emiti gya kalitunsi, embaawo, amabaati amakadde, okusobola okutambuza obulamu.

Abatuuze bagamba nti newankubadde bazzeemu okuzimba, betaaga obuyamba omuli emmere, eby’okwambala, Kapito okuzzaawo emirimu gyabwe ssaako n’amabaati amapya, okuzzaawo amayumba.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Florence Nandudu, bagamba nti okuva sabiiti ewedde basula bweru ssaako n’abaana ng’embeera gye balimu sinungi nakamu.

Ate Pasita Alex Masaba nga naye y’omu ku bantu abali maziga, agamba nti abantu bali mu mbeera mbi, era Gavumenti ssaako n’abakulembeze bonna abalina obusobozi, bebasigadde okutaasa embeera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901