GIWUNYE! Bobi Wine bazzeemu okumuyita abitebye ate Bigirwa aguddwako emisango 3, asindikiddwa mu kkomera e Kitalya okutuusa 19, Nov, 2021
Kyaddaki kkooti ya Law Development Center-LDC mu Kampala ezzeemu okuyita Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwewozaako ku ngeri gye yafunamu Diploma ku Yunivasite e Makerere.
Kinnajjukirwa nti munnamateeka Male Mabirizi, yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuyigirize bwa Kyagulanyi ssaako n’engeri gye yayingira ku Yunivasite y’e Makerere, okusoma mu nsoma ey’abakulu.
Kyagulanyi yatikkirwa ku yunivaasite e Makerere emyaka egisukka 20 Diploma mu kuyimba, okuzina ne katemba ky’oyinza okuyita (Music, Dance and Drama-MDD) wabula Mabirizi yamutwala mu kkooti.
Mu kkooti, Mabirizi agamba nti tekisoboka kuba nga Kyagulanyi yaweebwa ekifo asome dipulooma ya MDD, nga 21, October, 2000 ku nteekateeka y’abakulu, nga yalina emyaka 20 gyokka mu kiseera ekyo.
Wabula Kyagulanyi yayitibwa mu kkooti, ng’ennaku z’omwezi 4 ne 7 omwezi guno ogwa November, kyokka teyalinyayo.
Kati no, okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa nga kiteekeddwako omukono gw’omulamuzi Augustine Alule, Kyagulanyi azzeemu okuyitibwa nga 30, omwezi guno, ogwa November, 2021 ku ssaawa 4 ez’okumakya ku kkooti ya LDC.

Wadde offiisi ya ssaabawaabi wa Gavumenti yali yeddiza omusango n’okulagira Poliisi okuddamu okunoonyereza, omuwaabi wa Gavumenti ku LDC Hannifa Kasana, agamba nti alagiddwa okweyongerayo n’omusango.
Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) Moses Bigirwa ne munnamawulire Pidson Kareire, basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya, okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwa November, 2021.

Bigirwa nga mu kulonda okuwedde, yakwata kaadi y’ekibiina ki NUP mu kuvuganya ng’omubaka wa Monicipaali y’e Kamuli ne munne, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda Road, Glays Kamasanyu era baguddwako emisango esatu (3) omuli okunyiiza amyuka sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, okumutambuzaako amawulire ag’obulimba ku mikutu migatta bantu n’okumusaba ssente ku kifuba obukadde obusukka mu 100, omwezi guno nga bali ne banaabwe abakyalira ku nsiko.
Mu kkooti, munnamateeka waabwe Abudallah Kiwanuka agamba nti wadde Bigirwa ne munne basindikiddwa ku limanda, basabye kkooti okulagira ekitongole ky’amakkomera okunoonyereza ku bigambibwa nti baatulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo era balina okubatwala mu ddwaaliro okufuna alipoota.