AMAZIGA! Okutigomya abantu mu Kampala, 90 bakwatiddwa babitebye okuli abakyala bakanywa musaayi

©GALAXY

Poliisi y’e Nateete nga yegatiddwako amaggye ga UPDF, bakoze ekikwekweeto ne bakwata abantu 90, abagambibwa okwenyigira mu kutigomya abatuuze. Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, ababbi beyongedde mu bitundu bye Nateete, Busega n’ebitundu bya Kampala eby’enjawulo, nga kivudde ku bikwekweeto ebizze bikolebwa, okunoonya ababbi ku Northern Bypass. Bonna 90 abakwatiddwa omuli […]


Poliisi y’e Nateete nga yegatiddwako amaggye ga UPDF, bakoze ekikwekweeto ne bakwata abantu 90, abagambibwa okwenyigira mu kutigomya abatuuze.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, ababbi beyongedde mu bitundu bye Nateete, Busega n’ebitundu bya Kampala eby’enjawulo, nga kivudde ku bikwekweeto ebizze bikolebwa, okunoonya ababbi ku Northern Bypass.

Bonna 90 abakwatiddwa omuli n’abakyala mu bitundu bye Gaza – Mabito mu Kampala batwaliddwa ku Poliisi y’e Nateete n’ebiziti byabwe omuli ebyambe, amassimu ssaako n’ebintu ebirala.

Owoyesigyire agamba nti ababbi baludde nga benyigira mu kubba amassimu ku abantu, okubba ensawo z’abakyala ne bakuba abantu era waliwo abazuuliddwa nga battiddwa ababbi.

Agamba nti ekikwekweeto kyakoleddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri era essaawa yonna abakwate, bagenda kubatwala mu kkooti ku misango gy’obubbi.

Ate entiisa ekyabuutikidde abatuuze ku kyalo Fika-Salama mu ggoombolola y’e Mbale Northern City mu kibuga kye Mbale, olw’omuliro okutta abantu basatu (3) nga bonna nga bafuuse bisiriiza mu nnyumba.

Omuliro, gwakutte akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 1, Febwali, 2022, nga kigambibwa gwavudde ku sigiri, eyabadde ku kabalaza k’ennyumba, omuliro ne gusika ebidomola by’amafuta ga Petulooli ebyabadde mu nnyumba mu ddiiro ne bikwata omuliro.

Abatuuze webatuukidde okutaasa nga Jamal Mutoto myaka 30, Sowedi Impiangu ali mu gy’obukulu 40 ne  Wilberforce Naifuge amanyikiddwa nga Buyinza 20, omuliro gumaze okubatta.

Wabula Ekesa Konstant, 30 ali mu ddwaaliro ekkulu e Mbale, okufuna obujanjabi naye ng’ali mu mbeera mbi kuba yabadde yabadde agezaako okutaasa banne n’ebintu by’omu nju.

Abatuuze bagamba nti famire eno, erudde nga yenyigira mu kutunda amafuta, ng’omulimu gwa famire, okunoonya ensimbi okwebezaawo n’okutambuza obulamu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Rogers Taitika, okunoonyereza kulaga nti abaafudde, bayingidde mu nnyumba nga bagezaako okutaasa ebintu byabwe, omuliro ne gubatta.

Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu, ku kyavuddeko omuliro nga bo abatuuze, bakyali mu kiyongobero.

Abamu ku batuuze basabye Poliisi okuyimiriza eky’okutunda amafuta mu bidomola mu kitundu kyabwe, okusobola okutaasa abantu okufa.