YIIYO! Jazmine asabbalaza abasajja, alaze Poloti y’essanyu ly’oku nsi mu HD 50 ku 100 ku Namazzi Road

©GALAXY

YIIYO! Jazmine asabbalaza abasajja, alaze Poloti y'essanyu ly'oku nsi mu HD 50 ku 100 ku Namazzi Road. Jazmine y'omu ku bayimbi abaliko kati


Omuyimbi Lydia Jazmine ayongedde okulaga nti ddala mu kisaawe ky’okuyimba, y’omu ku bawala abato abaliko mu kiseera kino abalabika obulungi.
Jazmine myaka 31, y’omu ku bayimbi abakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Kapeesa, Good Night ne Rickman, I Love You Bae, Masuuka, Ebintu Byange, Wankolera n’endala.

Ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Instagram, Jazmine alina abagoberezi akakadde kamu (1,000,000) n’okusingira ddala abasajja.

Jazmine ng’alaga work


Abamu ku basajja, mwe muli abamwepikira nga bagamba nti asukkiridde okunyirira.

Jazmine y’omu ku bakyala abategeera ebisanyusa abawagizi be era y’emu ku nsonga lwaki buli lunnaku alina okuteekayo ebifaananyi ku Instagram, abantu be n’okusingira ddala abasajja okuliisa ku maaso.

Jazmine ng’alaga work

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, yatadde ekifaananyi ku Instagram ng’ali mu bugoye obweru era abawagizi bangi bagamba nti ddala omwana alina ‘Work’.
Yataddeyo ebifaananyi bibiri (2), kwe kusaba abawagizi be okulondako ekisinga obulungi (1 or 2 ?).

Jamzine asabbalaza abasajja

Mungeri y’emu yasobodde okweyambisa omukisa gw’ebifaananyi okutegeeza eggwanga nti alina oluyimba olupya, Tonkozesa era agenda kulufulumya wiiki eno, “TONKOZESA Dropping This Week“.

Oluvanyuma lwa Jamzine okutegeeza eggwanga ku luyimba lwe ‘Tonkozesa’, abamu ku bawagizi be bavuddeyo ne basiima ennyambala ye.
Ssentongoyusufu – Mermaid wange am waiting for the blast.
Sheenation_daily – Dilemma is killing Me Coz They’re Both.
Halimanakatto – Black beauty.
Ronniehozzylj – Mummyo gwe aliko we love you diva.
Sammydeparc – Jhus a simpo qtn did dey 1st see da 1st slide then dey came up wd da real definition of “Stunning”jhus askin’.
Ronniehozzylj – Ekimuli Kya Africa.
Ronniehozzylj – Laba omwana gwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SLpFUHdgXgk