Abantu 4 battiddwa nga bafiiridde mu kabenje mu kiro, mu disitulikiti y’e Mubende ku luguudo oluva e Kakumiro okudda e Mubende. Akabenje kavudde ku FUSO namba UAY 196/T, ebadde ekubyeko abasuubuzi, abava mu Katale ssaako n’ebintu byabwe, okuva ku kkubo neyingirira ekizimbe. Akabenje kano kabadde ku kyalo Madudu ku ssaawa nga 4 ez’ekiro era abantu […]
Abantu 4 battiddwa nga bafiiridde mu kabenje mu kiro, mu disitulikiti y’e Mubende ku luguudo oluva e Kakumiro okudda e Mubende.
Akabenje kavudde ku FUSO namba UAY 196/T, ebadde ekubyeko abasuubuzi, abava mu Katale ssaako n’ebintu byabwe, okuva ku kkubo neyingirira ekizimbe.
Akabenje kano kabadde ku kyalo Madudu ku ssaawa nga 4 ez’ekiro era abantu 3 bafiiriddewo, 1 yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro, 18 baddusiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mubende nga bali mu mbeera mbi.
Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agamba nti abafudde kuliko abakyala basatu (3) n’omusajja omu (1).
Abafudde kuliko ategerekeseeko erya Nakibuka, Katushabe Yasinta myaka 45, ategerekeseeko erya Harriet n’omusajja Ssembatya.
Ate abatwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi kuliko
1.Mubulizi kelebu
2. Ssemakula Alice
3. Kasibante Emmanuel,
4. Wasswa kenneth
5. Zziwa Ronald
6. Ssenegeya poisiano
7. Jonathan
8. Maale Richard
9. Bale Francis
10. Kasumba vincent,
11. Kalijira Nakyanzi,
12. Safina,
13. Nampijja Grace,
14. Nfitikiza Habibu
15. Steven Nzeimana
16. Lukwago Willy,
17. Nangozi Realty
18. Musanagowoza Supesioza.
Kawala agamba nti abaafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaaliro e Mubende okufuna obujanjabi ssaako n’emirambo era mu ddwaaliro e Mubende okwekebejjebwa.
Ate ddereeva wa Fuso aliira ku nsiko mu kiseera kino.
Kawala mu ngeri y’emu alabudde baddereeva okukomya okuvugisa ekimama.