KITALO! Akabenje ddekabusa ku lwe Masaka, 4 bafiiriddewo. Kigambibwa Tuleera Macedec Benz yabadde eva Masaka okudda mu Kampala
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lwe Masaka – Kampala ku kyalo Matanga awayitibwa Ndikuttamadda.
Akabenje, kabaddemu emmotoka okuli
– Fusobox body – 02 MVs UBQ 238Q ne
– Tuleera Macedec Benz – CGO.9638AF/19/CGO.6561AA/19.
Kigambibwa Tuleera Macedec Benz yabadde eva Masaka okudda mu Kampala wabula bwe yatuuse e Matanga ku kasozi, yabadde egezaako okuyisa emmotoka endala, kwe kuyingirira emmotoka endala MV UBQ 238Q.

Fusobox body yabadde eva Kampala okudda e Masaka.
Abantu 4 bafiiriddewo omuli
– Dereeva Syaunswa Kanyamunyu eyabadde avuga Tuleera Macedec Benz
– Abalala 3 nga bali mu Fusobox body ssaako n’okulumya omuntu omu.
Emirambo gy’asindikiddwa mu ddwaaliro e Masaka ssaako n’omuntu eyafunye ebisago naye ali mu ddwaaliro lye limu afuna bujanjabi.
SP Kasirye Twaha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka, agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=3s