Abakyala b’embuto ku ddwaliro e Kamuli eryazimbibwa mu 2016 basobeddwa eky’okukola oluvannyuma lwa scan okufa. Abakyala bagamba, bateekeddwa okugenda mu Scan okeberebwa kyoka abasawo babasindika malwaliro malala omuli ag’obwananyini ate bbo tebalina ssente okufuna obujanjabi. Abakulira eddwaliro nga bakulembeddwamu Sophie Zikusooka bagamba nti scan nnamu nnyo era etagaanza bulungi abaana abali munda mu mbuto naye […]
Abakyala b’embuto ku ddwaliro e Kamuli eryazimbibwa mu 2016 basobeddwa eky’okukola oluvannyuma lwa scan okufa.
Abakyala bagamba, bateekeddwa okugenda mu Scan okeberebwa kyoka abasawo babasindika malwaliro malala omuli ag’obwananyini ate bbo tebalina ssente okufuna obujanjabi.
Abakulira eddwaliro nga bakulembeddwamu Sophie Zikusooka bagamba nti scan nnamu nnyo era etagaanza bulungi abaana abali munda mu mbuto naye yayimirizibwamu olw’okuddaabirirza eddwaliro eryo okugenda mu maaso.
Ate Dr Steven Daaki agamba nti akyali mupya ku ddwaliro eryo, nga tanaba kwetegereza nsonga ya Scan kyoka ebigambibwa nti yaffa dda, abiwulira mu ngabo.
