Omussomesa myaka 27 akwatiddwa lwa kudda ku mwana omuto namusobyako namutiika n’olubuto. John Birinda omutuuze ku kyalo Chogo cell mu gombolola y’e Bukimbiri mu disitulikiti y’e Kisoro, yakwatiddwa. Kigambibwa, omussomesa oyo yasendasenda omwana gwasomesa abadde asoma eky’omukaaga ku Bright Star Academy Pre and Primary School, myaka 15 ne bakola omukwano namutiika olubuto. Abazadde basobodde okwekebejja […]
Omussomesa myaka 27 akwatiddwa lwa kudda ku mwana omuto namusobyako namutiika n’olubuto.
John Birinda omutuuze ku kyalo Chogo cell mu gombolola y’e Bukimbiri mu disitulikiti y’e Kisoro, yakwatiddwa.
Kigambibwa, omussomesa oyo yasendasenda omwana gwasomesa abadde asoma eky’omukaaga ku Bright Star Academy Pre and Primary School, myaka 15 ne bakola omukwano namutiika olubuto.
Abazadde basobodde okwekebejja omwana nga bamugyako dda embuuzi ye, nategeeza nti omussomesa yamusuubiza dda okumutta singa amuloopa eri omuntu yenna.
Abazadde baduukidde ku Poliisi era omussomesa Birinda ali mu kaduukulu ka Poliisi Kisoro nga yagguddwaako omusango gw’okujjula ebitanajja.
Ku nsonga eyo, aduumira Poliisi mu bitundu bye Kisoro, Charles Patrick Okoto agambye nti omussomesa akwatiddwa era essaawa yonna, atwalibwa mu kkooti.
