Abadukanya ssentendekero wa yunivaasite y’e Makerere bagobye abayizi 17, nga bonna benyigira mu bikolwa emikyamu omuli okwenyigira okubba ebigezo. Okusinzira ku Tom Otim omuwandiisi eri abayizi abasoma obusomesa, basobodde okunoonyereza obulungi ng’abayizi banno benyigira mu kubba ebigezo era okubagoba kikoleddwa okuba eky’okulabirako eri abayizi abalala abasuubira okweyingira mu bikolwa byebimu. Abayizi abagobeddwa kuliko Martha Atuheire, […]
Abadukanya ssentendekero wa yunivaasite y’e Makerere bagobye abayizi 17, nga bonna benyigira mu bikolwa emikyamu omuli okwenyigira okubba ebigezo.
Okusinzira ku Tom Otim omuwandiisi eri abayizi abasoma obusomesa, basobodde okunoonyereza obulungi ng’abayizi banno benyigira mu kubba ebigezo era okubagoba kikoleddwa okuba eky’okulabirako eri abayizi abalala abasuubira okweyingira mu bikolwa byebimu.
Abayizi abagobeddwa kuliko Martha Atuheire, Lawrence Kiwika, Sharon Namanya, Angela Awori ne Grace Kiyemba okumala emyaka 2.
Ate Alex Kintu, Elvis Oundo, Ruth Kayaga ne Winfred Nnakyeyune bbo, bawereddwa ebiwandiiko ebibagobye ku yunivaasite obulamu bwabwe bwona lwa kugingirira kaadi ezibakiriza okukola ebigezo ate Oscar Dickson Omeka lwa kukoopa.
Ku nsonga eyo, Ssabawandiisi Tom Otim agambye nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza era abayizi bonna abenyigira mu bikolwa ebyo, balina okubonerezebwa.
