KITALO NNYO! Omwana asse kitaawe lya nnyina, Poliisi emugalidde

©GALAXY

Poliisi ekutte omukyala myaka 22 lwa kutta kitaawe. Omukwate ali mu kaduukulu ka Poliisi mu disitulikiti y’e Otuke, nga yakubye kitaawe omuggo ku mutwe nafirawo bwe yabadde ataasa okulwanagana wakati wa nnyina ne kitaawe. Taata Moses Awiyo myaka 44 olwakubiddwa omuggo yagudde wansi nafirawo. Aduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Edson Turyaryomwe agambye nti omuwala eyasse […]


Poliisi ekutte omukyala myaka 22 lwa kutta kitaawe.
Omukwate ali mu kaduukulu ka Poliisi mu disitulikiti y’e Otuke, nga yakubye kitaawe omuggo ku mutwe nafirawo bwe yabadde ataasa okulwanagana wakati wa nnyina ne kitaawe.
Taata Moses Awiyo myaka 44 olwakubiddwa omuggo yagudde wansi nafirawo.
Aduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Edson Turyaryomwe agambye nti omuwala eyasse kitaawe, wakutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.
Mungeri y’emu agambye nti ettamiro erisukiridde, obwenzi, n’obwavu zezimu ku nsonga lwaki obutabanguka mu maka bweyongedde mu kitundu kyabwe.