UNEB! Ebigezo by’abaana 76 bikwatiddwa okuva massomero 24

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Ebigezo by’abaana 79 okuva mu massomero 24 bikwatiddwa nga kigambibwa nti benyigira mu kubba ebigezo. Ekyama kino kibikuddwa ssentebbe w’ekitongola ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examination Board (UNEB) Prof Mary Okwakol, bw’abadde afulumya ebigezo by’abaana abatuula S6 omwaka oguwedde ogwa 2017. Ku baana 101,269 abali bewandisiza okutuula ebigezo, 100,066 bebasobola okutuula […]


Bya Nalule Aminah
Ebigezo by’abaana 79 okuva mu massomero 24 bikwatiddwa nga kigambibwa nti benyigira mu kubba ebigezo.
Ekyama kino kibikuddwa ssentebbe w’ekitongola ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examination Board (UNEB) Prof Mary Okwakol, bw’abadde afulumya ebigezo by’abaana abatuula S6 omwaka oguwedde ogwa 2017.
Ku baana 101,269 abali bewandisiza okutuula ebigezo, 100,066 bebasobola okutuula ate abalala ensonga eyabalemesa tenaba kuzuulibwa.
Abaana abawala bakoze bulungi nnyo okusinga ku baana abalenzi.
Abayizi abafunye principal passes 3 bali 34,819 ate mu 2016 bali 39,797 ekiraga nti ku mulundi gunno beyongedde okukola obubbi.
Wabula omuwandiisi wa UNEB Dan Nokrach Odongo, agambye nti abayizi obutamanya Lungereza y’emu ku nsonga lwaki abaana abagwa ebigezo, bakyeyongera.
Mungeri y’emu agambye nti wadde kyabuwaze abaana okusoma amasomo ga Sciences omuli Okubala, Physics, Chemistry ne Biology mu O – Level, abaana beyongedde okukendera okusuula Sciences mu A – Level.
Ebigezo bikwasiddwa minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawagulu John Chrysestom Muyingo ku lwa Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni atasobodde kubaawo.