ESSANNYU! 5 bawangudde akalulu ka City Oil, besuunga kuvugira mmotoka mu ddungu

©GALAXY

Kyaddaki abantu 5 bawangudde akalulu ka ENOC Dubai Desert Challenge nga bonna batwalibwa mu ggwanga erya Dubai okulya obulamu mu ngeri ezenjawulo omwezi ogujja ogwokuna. Akalulu kabadde ku ssundiro kya City Oil ku Jinja Road Nakawa era kabaddemu abantu bonna abasobola okukola saavisi w’emmotoka zaabwe ku masundiro ga City Oil e Nakawa, Kibuye, Namirembe Road […]


Kyaddaki abantu 5 bawangudde akalulu ka ENOC Dubai Desert Challenge nga bonna batwalibwa mu ggwanga erya Dubai okulya obulamu mu ngeri ezenjawulo omwezi ogujja ogwokuna.
Akalulu kabadde ku ssundiro kya City Oil ku Jinja Road Nakawa era kabaddemu abantu bonna abasobola okukola saavisi w’emmotoka zaabwe ku masundiro ga City Oil e Nakawa, Kibuye, Namirembe Road ne Bombo Road.

Aba City Oil bawezezza abantu 25 abaakawangula akalulu kano era nga basigazzaayo oluzannya lumu omwezi ogujja okuweza abawanguzi abantu 30 abalina okutwalibwa.
Abawangudde okugenda e Dubai kuliko
Matovu Shaban
– Kasule Moses
– Kyeyune Samuel
– Kironde Henry
– Asia Nabisalo
Ate Lwere Abdul awangudde amafuta ga mitwalo 100,000/=.
Mungeri y’emu abawanguzi abalala okuli Mivule Moses, Haji Yusuf Gita ne Nanzige Karim bawangudde ebirabo okuva mu City Oil.
Okusinzira ku Richard Wandawa akulira ebya tekinologye, okutwala abantu mu ggwanga erya Dubai kikoleddwa okudiza ku bakasitoma babwe.
Okutwala abantu kiwagiddwa aba City Oil ne kkampuni ye Dubai eya ENOC era abawagizi bonna bali mu ssanyu era bangi besunga okuvugira mmotoka mu ddungu