TEBINAGWA! Agambibwa okutta Mowzey Radio, bamukomyawo mu kkooti ku gw’obutemu

©GALAXY

Omuvubuka Godfrey Wamala atemera mu gy’obukulu 28 eyakwatibwa ku by’okutta eyali nakinku mu kuwandiika ennyimba n’okuziyimba Mowzey Radio enkya ya leero, akomezebwawo mu kkooti esokerwako Entebbe, okuddamu okwekenenya okunoonyereza wekutuuse mu musango gwe. Wamala bangi ku bannayuganda bamutegeera nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu gombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, yagulwako omusango gw’obutemu mu […]


Omuvubuka Godfrey Wamala atemera mu gy’obukulu 28 eyakwatibwa ku by’okutta eyali nakinku mu kuwandiika ennyimba n’okuziyimba Mowzey Radio enkya ya leero, akomezebwawo mu kkooti esokerwako Entebbe, okuddamu okwekenenya okunoonyereza wekutuuse mu musango gwe.

Omugenzi Radio
Omugenzi Radio

Wamala bangi ku bannayuganda bamutegeera nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu gombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, yagulwako omusango gw’obutemu mu maaso g’omulamuzi Mary Kaitesi era nasindikibwa mu kkomera e Kigo, okutuusa olwaleero.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Muhiirwe lugamba nti nga 22, Janwali, 2018, Troy yakwata Radio namukuba wansi, nafuna obuzibu ku mutwe mu bbaala ya De bar Entebbe, ekyavirako okuffa kwe.