AWEDDE! Ssemaka apangisiza omutemu okutta mukyala we, Poliisi emukutte nawoloma

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte Ssemaka abadde ategese okutta mukyala we lwa byabugagga. Salongo Christopher Katalyebwa myaka 48 omutuuze we Kyengera mu Disitulikiti y’e Wakiso yakwatiddwa kubigambibwa nti yabadde apangisiza omutemu okutta mukyala we, Nalongo Josephine Namukisa gwalinamu abaana 4, abadde atandiise okayanira eby’obugagga. Abafumbo banno, babadde bakola bombi ku Skylight Shopping Arcade ku luguudo lwe […]


Poliisi mu Kampala ekutte Ssemaka abadde ategese okutta mukyala we lwa byabugagga. Salongo Christopher Katalyebwa myaka 48 omutuuze we Kyengera mu Disitulikiti y’e Wakiso yakwatiddwa kubigambibwa nti yabadde apangisiza omutemu okutta mukyala we, Nalongo Josephine Namukisa gwalinamu abaana 4, abadde atandiise okayanira eby’obugagga.
Abafumbo banno, babadde bakola bombi ku Skylight Shopping Arcade ku luguudo lwe Nakivubo kyoka bafunamu obutakanya, omukyala kwekutandika okubanja bagabane ebintu bye bakoze mu myaka 18.
Aduumira Poliisi ku Kampala mukadde, ASP Grace Nyangoma agambye nti batemezeddwako aba Bodaboda nti omukyala agenda kutibwa era omutemu yawereddwa akakadde kamu aka Uganda, okutukiriza omulimu gwo.
DPC Nyangoma agambye nti omusajja okwatibwa kwe, Poliisi etandiise okunoonyereza.