ANTI UGANDA! Enteekateeka z’okuziika Susan Magara zifulumiziddwa

©GALAXY

Enteekateeka z’okuziika Susan Magara zifulumiziddwa. Okusinzira ku Famire, olunnaku olwaleero, bagenda kusabira omubiri gw’omugenzi ku Our Lady of Africa Catholic church e Mbuya oluvanyuma omulambo gutwalibwe e Hoima gye gugenda okusula mu lumbe ku kyalo Katoba. Olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, bagenda kuddamu okusabira omubiri gw’omugenzi ku St. Kirigwajjo Catholic Church e Kitoba era aziikibwa enkya […]


Enteekateeka z’okuziika Susan Magara zifulumiziddwa.
Okusinzira ku Famire, olunnaku olwaleero, bagenda kusabira omubiri gw’omugenzi ku Our Lady of Africa Catholic church e Mbuya oluvanyuma omulambo gutwalibwe e Hoima gye gugenda okusula mu lumbe ku kyalo Katoba.
Olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, bagenda kuddamu okusabira omubiri gw’omugenzi ku St. Kirigwajjo Catholic Church e Kitoba era aziikibwa enkya (Lwakuna) ku ssaawa 8 ez’emisana.
Susan Magara abadde muwala wa John Fitzegerald Magara ate eyaliko minisita we byamasanyalaze Henry Kajura abadde jjajja we.
Susan Magara myaka 28 yabuzibwawo nga 7, Febwali, 2018 bwe yali akyuse ku mirimu okudda awaka e Lungujja mu Gombolola y’e Rubaga okumpi n’amaka we yali abeera kyoka omulambo gwe gwazuliddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 27, Febwali, 2018 e Kigo ku lwe Ntebbe.