Poliisi mu Kampala ekutte abasajja 2 abagambibwa okulemberamu okuwamba abaana mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ate ne basaba ssente bazadde babwe okusobola okuyimbulwa. Abakwatiddwa kuliko Godie Kasenya ne Sam Mugula era bakwatiddwa ekitongole ekirwanyisa ababbisa emmundu n’ebikolobero eby’amaanyi, ekya Flying Squad okuva e Kawanda. Banno okwatibwa, kidiridde okuwamba omwana Joel Bwambale myaka 8 okuva e […]
Poliisi mu Kampala ekutte abasajja 2 abagambibwa okulemberamu okuwamba abaana mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ate ne basaba ssente bazadde babwe okusobola okuyimbulwa.
Abakwatiddwa kuliko Godie Kasenya ne Sam Mugula era bakwatiddwa ekitongole ekirwanyisa ababbisa emmundu n’ebikolobero eby’amaanyi, ekya Flying Squad okuva e Kawanda.
Banno okwatibwa, kidiridde okuwamba omwana Joel Bwambale myaka 8 okuva e Katooke mu goombolola y’e Nansana oluvanyuma ne bamuyimbula olwa bazadde okuwaayo obukadde 4 obwa Uganda.
Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti okwatibwa kw’abasajja banno, Poliisi etandiise okunoonyereza era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti bawerennembe n’omusango gwabwe.
