Ssetendekero asinga obukulu mu ggwanga lino Uganda, Makerere liyimiriza omu ku bassomesa Dr Swizen Kyomuhendo ku bigambibwa nti abadde asukiridde okuganza abayizi asobole okubawa makisi ez’obwereere. Okusinzira kw’amyuka Chansala we Makerere Polof Barnabas Nawangwe, okuyimiriza Dr Kyomuhendo kikoleddwa okuyambako okukola okunoonyereza nga tewali kutataganyizibwa. Omwogezi wa Yunivasite y’e Makerere Ritah Namisango agambye nti Polof Nawangwe […]
Ssetendekero asinga obukulu mu ggwanga lino Uganda, Makerere liyimiriza omu ku bassomesa Dr Swizen Kyomuhendo ku bigambibwa nti abadde asukiridde okuganza abayizi asobole okubawa makisi ez’obwereere.

Okusinzira kw’amyuka Chansala we Makerere Polof Barnabas Nawangwe, okuyimiriza Dr Kyomuhendo kikoleddwa okuyambako okukola okunoonyereza nga tewali kutataganyizibwa.
Omwogezi wa Yunivasite y’e Makerere Ritah Namisango agambye nti Polof Nawangwe ataddewo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku nsonga za Dr Kyomuhendo wabula bonna abali kakiiko amannya gasirikiddwa kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza.
Dr Kyomuhendo alagiddwa okuwaayo buli kintu kya University kyalina mu bwangu n’empapula z’abayizi eziri mu mikono gye.
Kinnajukirwa nti Dr Kyomuhendo yalabwako mu katambi akakwatibwa NBS TV ng’asendasenda omuyizi okugenda mukwano asobole okumuyamba okuyita olupapula lw’assomesa wadde nga bino byonna yabyegaana.
