Mukomye okubojjerera abayizi olwa makisi, Polof Kateregga alabudde abassomesa

©GALAXY

Bya Nakaayi Rashidah Amyuka Chansala ku Kampala University Owek.Amb.Al-Haj.Prof. Badru Kateregga alabudde abassomesa okomya okuganza abayizi basobole okufuna makisi ez’obwerere ku matendekero agawagulu. Prof Kateregga agamba nti okuganza abaana y’emu ku nsonga lwaki eggwanga lifunye abayizi abekibogwe ekiviriddeko abamu okulemwa okufuna emirimu kuba tebalina kyebayinza kukola. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ttabi lya Kampala University […]


Bya Nakaayi Rashidah
Amyuka Chansala ku Kampala University Owek.Amb.Al-Haj.Prof. Badru Kateregga alabudde abassomesa okomya okuganza abayizi basobole okufuna makisi ez’obwerere ku matendekero agawagulu.
Prof Kateregga agamba nti okuganza abaana y’emu ku nsonga lwaki eggwanga lifunye abayizi abekibogwe ekiviriddeko abamu okulemwa okufuna emirimu kuba tebalina kyebayinza kukola.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ttabi lya Kampala University e Ggaba, Prof Kateregga agambye nti bbo okulwanyisa abassomesa okuganza abayizi bateekawo amateeka amakambwe omuli n’okutekawo ebigezo ebisokerwako okusunsulamu abayizi abategeera kye bakola.

Abattikirwa mu 2016 ku Kampala University
Abattikirwa mu 2016 ku Kampala University

Bino agenze okubyogera ng’olunnaku olw’enkya nga 7, March, 2018, Kampala University  agenda kuttikira abayizi 2,923 nga bagenda kufuna ebbaluwa ezenjawulo omuli Diguli, Dipuloma ne satifiketi.
Ku mulundi gunno, abayizi 1,679 balenzi (57.41%) ate 1,244 bawala (42.49%).
Ku baana abagenda okuttikirwa, 1,935 bannayuganda (66.22%), 272 bannansi ba Somalia (9.45%) 186 bannansi ba Kenya (6.37%), 183 ba Rwanda (6.26%), 142 okuva mu Nigeria (4.86%) ate 17 okuva mu ggwanga erya Burundi (2.87%).