AUDIO! Olunaku lw’abakyala ba Uganda, bangi bekokodde abasajja okubakyawa olw’amabeere okuggwa

©GALAXY

Leero abakyala mu nsi yonna bajaguza olunnaku lwabwe lwa bakyala wansi w’omulamwa “okuwagira n’okuzaamu amannyi abakyala n’abawala n’okusingira ddala mu byalo n’okulwanyisa okusomozebwa kwebasanga ng’abakyala”. Mu Uganda emikolo emikulu gitwaliddwa mu Disitulikiti y’e Mityana ku tendekero lya bassomesa erya Busuubizi Core Primary Teachers college era omukulembeze weggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ye mugenyi omukulu. Wabula […]


Leero abakyala mu nsi yonna bajaguza olunnaku lwabwe lwa bakyala wansi w’omulamwa “okuwagira n’okuzaamu amannyi abakyala n’abawala n’okusingira ddala mu byalo n’okulwanyisa okusomozebwa kwebasanga ng’abakyala”.

Mu Uganda emikolo emikulu gitwaliddwa mu Disitulikiti y’e Mityana ku tendekero lya bassomesa erya Busuubizi Core Primary Teachers college era omukulembeze weggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ye mugenyi omukulu.

Wabula bbo abakyala bagamba nti bakooye abasajja okubakyawa olw’okuba bayonseza baana baabwe amabeere negagwa ate ng’abasajja bagala gayimiridde.