AUDIO! 3 bakwatiddwa lwa kwekobaana ne basobya ku mwana atanetuuka, mukazzi wattu bamukabiiza

©GALAXY

Poliisi y’e Kisoro ekutte abantu 3 lwa kwekobaana ne basobya ku mwana atanetuuka wadde amannya gasirikiddwa ku fayiro namba CRB 248/2018. Abakwakiddwa basendasenda omuwala myaka 16 ne bamufumbiza emyezi 5 egyakayita era okwatibwa, abatuuze basobodde okutemya ku Poliisi ne bakwatira mu Kanisa ya Bizenga Catholic Church nga batekateeka okubagata wansi wa Rev Father Sebatware Joseph […]


Poliisi y’e Kisoro ekutte abantu 3 lwa kwekobaana ne basobya ku mwana atanetuuka wadde amannya gasirikiddwa ku fayiro namba CRB 248/2018.

Abakwakiddwa basendasenda omuwala myaka 16 ne bamufumbiza emyezi 5 egyakayita era okwatibwa, abatuuze basobodde okutemya ku Poliisi ne bakwatira mu Kanisa ya Bizenga Catholic Church nga batekateeka okubagata wansi wa Rev Father Sebatware Joseph ow’e Mutolere.

Ku bakwatiddwa kuliko omuvubuka eyawasa omuwala, Asiimwe John myaka 19, taata we, Akizimana Frogensi ne nnyina w’omuwala Kemirembe Scola era kigambibwa nti omulenzi yawaayo Ente emu n’ensimbi 1,500,000shs okufuna omukyala.

Elly Maate
Elly Maate

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti abazadde bakwatiddwa n’omuvubuka eyali awasiza omuwala era Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.