BAWEDDE! Abayigiriza Minisita Namuganza Kampala bakiguddeko, basindikiddwa e Luzira ku misango 9

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Samuel Kagoda asindiise abasajja 2 ku limanda mu kkomera e Luzira lwa kubba bantu nga beyambisa tekinologye omwezi oguwedde. Kigambibwa, abasajja banno beyambisa nnamba ya Minisita omubeezi ku by’ettaka Persis Namuganza, w’ensonga z’obulimi Christopher Kyebazanga, akola ku nsonga z’abavubuka Mwine Mpaka n’omulala ategerekese nga Mercy Kyankunda okubba abantu ensimbi, […]


Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Samuel Kagoda asindiise abasajja 2 ku limanda mu kkomera e Luzira lwa kubba bantu nga beyambisa tekinologye omwezi oguwedde.

Kigambibwa, abasajja banno beyambisa nnamba ya Minisita omubeezi ku by’ettaka Persis Namuganza, w’ensonga z’obulimi Christopher Kyebazanga, akola ku nsonga z’abavubuka Mwine Mpaka n’omulala ategerekese nga Mercy Kyankunda okubba abantu ensimbi, nga beyambisa enkola ya Mobile Money.

Nasser Kigenyi ne Henry Mugambe mu kkooti (Ekifaananyi kya Chimpreport)
Nasser Kigenyi ne Henry Mugambe mu kkooti (Ekifaananyi kya Chimpreport)

Abasajja banno, okuli Nasser Kigenyi myaka 29 ne Henry Mugambe abaliko abakozi mu kampuni y’amassimu eya MTN ettabi lye Mubende era mu kiseera ky’okuwandiisa amassimu, bawandiisa layini zabwe mu mannya ga baminisita abbo, era baludde nga bazeyambisa okubba abantu ensimbi.

Banno baguddwako emisango 9, omuli okwagala okubba abantu nga beyambisa tekinologye w’amassimu, okweyambisa obukyamu kompyuta, okutaataganya layini z’amassimu n’obufere.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nelly Asiku lusabye omulamuzi okubawa obudde okomekereza okunoonyereza kwabwe, era omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa, nga 15, March, 2018.

Enamba z’essimu kuliko 0782670551 Hon Persis Namuganza, 0772970393 (Christopher Kyebazanga), 0783799892 ( Mwine Mpaka) ne 07726679365 (Mercy Kyankunda).