MUNSONYIWE! Omusawo w’ekinnansi bamusibye mayisa lwa kusaddaka omuvubuka myaka 19

©GALAXY

Ssemaka ate nga musawo wakinnansi asindikiddwa mu kkomera okusibwa amayisa, lwakusaddaka muntu. Godfrey Kizza omutuuze we Kitimbwa mu gombolola y’e Wabwoko mu disitulikiti y’e Kayunga, yasibiddwa, bwakiriza nti yasalako Saul Kajura omutwe mu nkola y’okusaddaka. Omusawo Kizza, yakiriza eky’okusaddaka Kajura mu maaso g’omulamuzi Margaret Mutonyi owa kkooti enkulu e Mukono. Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kizza […]


Ssemaka ate nga musawo wakinnansi asindikiddwa mu kkomera okusibwa amayisa, lwakusaddaka muntu.

Godfrey Kizza omutuuze we Kitimbwa mu gombolola y’e Wabwoko mu disitulikiti y’e Kayunga, yasibiddwa, bwakiriza nti yasalako Saul Kajura omutwe mu nkola y’okusaddaka.


Godfrey Kizza ali wakati nga bamutwala mu kkomera

Omusawo Kizza, yakiriza eky’okusaddaka Kajura mu maaso g’omulamuzi Margaret Mutonyi owa kkooti enkulu e Mukono.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kizza yasaddaka Kajura mu 2016 neyekweka okutuusa lwe yakwatiddwa mu disitulikiti y’e Nakasongola.

Saul Kajura yatibwa ku myaka 19 era omutwe gwe gwasangibwa mu ssabo lya Godfrey Kizza nga ekiwuduwudu kizikibwa okumpi ne ssabo.

Kajura yali Crime Preventer nga emirimu gye agitambuliza ku Poliisi y’e Kitimbwa.