NZE NDI MUNENE! Kasirye Ggwanga alemeddeko, agaanye okukubira Gen Muhoozi saluti

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Munnamaggye Ivan Kasirye Ggwanga yebalamye emikolo gy’ekitongole ekikuuma ddembe eky’amaggye, egibadde ku kitebe ky’amaggye e Mbuya okuttikira abbo, abakuziddwa omuduumizi w’amaggye omukulu era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni. Boffiisa bangi nnyo abakuziddwa enyota zaabwe okuli 2 Major General, 5 Brigadier, 55 Colonels n’abalala ku mukolo, ogukulembeddwamu omuduumizi w’amaggye mu ggwanga lino […]


Bya Nalule Aminah

Munnamaggye Ivan Kasirye Ggwanga yebalamye emikolo gy’ekitongole ekikuuma ddembe eky’amaggye, egibadde ku kitebe ky’amaggye e Mbuya okuttikira abbo, abakuziddwa omuduumizi w’amaggye omukulu era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Ekibadde e Mbuya
Ekibadde e Mbuya

Boffiisa bangi nnyo abakuziddwa enyota zaabwe okuli 2 Major General, 5 Brigadier, 55 Colonels n’abalala ku mukolo, ogukulembeddwamu omuduumizi w’amaggye mu ggwanga lino General David Muhoozi.

Ivan Kasirye Ggwanga yakuziddwa okuva ku Brigadier okudda ku Major General era abadde ateekeddwa okubaayo, kyoka talabiseeko.

Ekibadde e Mbuya
Ekibadde e Mbuya

Wabula omwogezi w’amaggye mu ggwanga Richard Karemire agambye nti omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyokwerinda mu Buganda Kasirye Gwanga, tasobodde kubaawo ng’alina emirimu mingi ddala emitongole, gy’alina okumaliriza.

Wabula kinnajjukirwa nti mu 2017 amangu ddala ng’omukulembeze w’eggwanga lino, Museveni alonze Gen David Muhoozi okudda mu bigere bya Gen Katumba Wamala okuduumira amaggye mu ggwanga lino, Kasirye Ggwanga yakaatiriza nti ye tagenda kulamusa Gen Muhoozi wadde okumukubira saluti kuba talina kyamusinga ku nsonga z’amaggye era kirabika y’emu ku nsonga lwaki n’olunnaku olwaleero agaanye okugenda e Mbuya.