WOOOWEEE! Abasirikale abakulu 8 bakwatiddwa, baguddwako omusango omukambwe

©GALAXY

Abasirikale ba Poliisi 8 bagobeddwa ku mirimu gyabwe ate ne basibwa nga kivudde ku basibe 13 okutoloka mu kaduukulu ka Poliisi e Mbale Central Police Station. Abasibe batolose mu kiro ky’olunnaku olwokusatu kuliko John Kibisi, Steven Wambi, Rogers Wekesa, Siyili Malo, Joseph Wandera, Joseph Nekamba, Musa Kabugo, Chris Kisibo, Sowali Masaba, Kenneth Moma, Emerson Wandwale, […]


Abasirikale ba Poliisi 8 bagobeddwa ku mirimu gyabwe ate ne basibwa nga kivudde ku basibe 13 okutoloka mu kaduukulu ka Poliisi e Mbale Central Police Station.

Abasibe batolose mu kiro ky’olunnaku olwokusatu kuliko John Kibisi, Steven Wambi, Rogers Wekesa, Siyili Malo, Joseph Wandera, Joseph Nekamba, Musa Kabugo, Chris Kisibo, Sowali Masaba, Kenneth Moma, Emerson Wandwale, Joseph Nakabi ne Peter Manana nga bakwatibwa ku misango egyenjawulo.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, Suwed Mansur abasirikale okwatibwa, kigambibwa nti bayambako abasibe okutoloka era okwatibwa kwabwe kigenda kuyambako Poliisi okunoonyereza.

Abasirikale abakwatiddwa kuliko Detective Assistant Inspector of Police Sam Were and Corporals Godfrey Oyese, Agnes Muyama ne Daphine Mukoya.

Abalala kuliko Police Constables Innocent Kiramo, Sauya Mukite, Akola Albriko ne Robinson Lagony.

Galaxy fm eyogeddeko ne Mansur ayogerera Poliisi mu kitundu ekyo, era agambye nti baguddwako ogw’okulagajjalira emirimu gyabwe.

Kinajjukirwa nga 7, March, 2017, abasibe 14 batoloka mu kaduukulu ka Poliisi e Kyotera Central Police Station.

Abasibe okwali Katamba, Ssewadda, Matovu, Mayombwe, Lubega, Serunjogi, Kazibwe, Kasozi, Ashim, Mugabi, Mbabazi, Nsereko, Wasswa ne Mutaawe basima ekkomera ne bagenda.