OMUZIMU GULEMEDDEKO! Troy agambibwa okutta Mowzey akiguddeko, Gav’t ereeta bwino

©GALAXY

Omuvubuka Godfrey Wamala atemera mu gy’obukulu 28, eyakwatibwa ku by’okutta eyali nakinku mu kuwandiika ennyimba n’okuziyimba Mowzey Radio olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 19, March, 2018, bamukomyawo mu kkooti esokerwako Entebbe, okuddamu okwekenenya okunoonyereza wekutuuse mu musango gwe. Wamala bangi ku bannayuganda bamutegeera nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu gombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e […]


Omuvubuka Godfrey Wamala atemera mu gy’obukulu 28, eyakwatibwa ku by’okutta eyali nakinku mu kuwandiika ennyimba n’okuziyimba Mowzey Radio olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 19, March, 2018, bamukomyawo mu kkooti esokerwako Entebbe, okuddamu okwekenenya okunoonyereza wekutuuse mu musango gwe.

Troy mu kkooti
Troy mu kkooti

Wamala bangi ku bannayuganda bamutegeera nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu gombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, yagulwako omusango gw’obutemu mu maaso g’omulamuzi Mary Kaitesi era yasindikibwa mu kkomera e Kigo, okutuusa olwaleero.

Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Muhiirwe lugamba nti nga 22, Janwali, 2018, Troy yakwata Radio namukuba wansi, nafuna obuzibu ku mutwe mu bbaala ya De bar Entebbe, ekyavirako okuffa kwe nga 1, Febwali, 2018.

Oludda oluwaabi olunnaku olw’enkya lugenda kutegeza omulamuzi webatuuse mu kunoonyereza.

Amangu ddala nga bakomekereza okunoonyereza kwabwe, omukwate Godfrey Wamala wakusindikibwa mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gya nagomola.