MUWEDDE! Prof Nawangwe akambuwadde, ayogedde ekiddako eri abayizi ku Makerere University ku kusoma kw’akawungeezi

©GALAXY

Yunivasite y’e Makerere esambaze amawulire agayitingana nti yaggyeewo okusoma kw’akawungeezi eri abayizi bonna. Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, amyuka Chansala Prof Barnabas Nawangwe, abayizi abasoma akawungeezi bakugenda mu maaso n’emisomo gyabwe kyoka obuvunanyizibwa butekeddwa ku buli kolegi (college) mu kifo kya bakulu abatwala yunivasite. Mungeri y’emu agambye nti ekya yunivasite okwegyako obuvunanyizibwa okudda ku college, kikoleddwa […]


Yunivasite y’e Makerere esambaze amawulire agayitingana nti yaggyeewo okusoma kw’akawungeezi eri abayizi bonna.

Abamu ku abayizi ku yunivasite y'e Makerere
Abamu ku abayizi ku yunivasite y’e Makerere

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, amyuka Chansala Prof Barnabas Nawangwe, abayizi abasoma akawungeezi bakugenda mu maaso n’emisomo gyabwe kyoka obuvunanyizibwa butekeddwa ku buli kolegi (college) mu kifo kya bakulu abatwala yunivasite.

Mungeri y’emu agambye nti ekya yunivasite okwegyako obuvunanyizibwa okudda ku college, kikoleddwa okulongosa entambuza y’emirimu n’abassomesa ku buli kolegi okwasaganya ensimbi zabwe.

Prof Nawangwe era agambye nti abassomesa okubanja okubongeza omusaala n’ensako nga tebalina nsimbi nakyo kibawaliriza okuzza ensonga z’abaana ku kolegi.

Kinnajukirwa sabiti ewedde ku lunnaku olwokutaano, Makerere yalangirira nti baggyeewo n’ekyemisana n’ekyeggulo ekibadde kiweebwa abayizi abasasulirwa Gavumenti nga kati bagenda kuweebwanga 4,500/- buli lunaku beeyiiye okufuna kye bayinza okulya eri abayizi 2,000 abasula munda mu yunivasite.

Enkyukakyuka ezo, zaalangirirwa era amyuka Chansala Barnabas Nawangwe era zaakutandika okukola ku bayizi abayingira mu August w’omwaka guno ogwa 2018 era n’agattako nti baazirangiridde mangu, bawe ekiseera abayizi abaneegatta ku yunivasite bajje nga bakimanyi bulungi nnyo.

Okwawukanako ekibaddewo nga yunivasite esomesa abayizi okuva ku makya okutuuka ekiro ku ssaawa 3:00, mu nkyukakyuka, okusomesa kwakukomanga ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi mu nteekateeka emanyiddwa nga “Evening Programme” eyamba abayizi abakola okusigala nga basoma.

Mungeri y’emu Nawangwe yagambye nti ensaasaanya ennene gye bakola ku mmere, amazzi n’amasannyalaze bye byabawalirizza okuggyawo emmere eri abayizi wabula buli omu okufuna ssente ze.