ANTI OBUYIIYA! 2 bakwattiddwa, basaangiddwa n’ebikyupuli bya ssente bya bukadde 4

©GALAXY

Poliisi mu Disitulikiti y’e Kisoro ekutte abasajja babiri (2) ku by’okusasaanya ebikyupuli bya ssente mu kitundu kyabwe. Abakwattiddwa basaangiddwa n’ebikyupuli bya bukadde 4 n’emitwalo 40 (4,400,000shs) era babagwikirizza mu Guest House eya Muhabura. Abakwate kuliko Keneth Mugabe omutuuze w’e Kilokole mu Goombolola y’e Kawempe ne Arthur Mutumba omusuubuzi mu Katale k’e Nakawa. Ebikyupuli kubaddeko 4,100,000shs […]


Poliisi mu Disitulikiti y’e Kisoro ekutte abasajja babiri (2) ku by’okusasaanya ebikyupuli bya ssente mu kitundu kyabwe.

Abakwattiddwa basaangiddwa n’ebikyupuli bya bukadde 4 n’emitwalo 40 (4,400,000shs) era babagwikirizza mu Guest House eya Muhabura.

Abakwate kuliko Keneth Mugabe omutuuze w’e Kilokole mu Goombolola y’e Kawempe ne Arthur Mutumba omusuubuzi mu Katale k’e Nakawa.

Ebikyupuli kubaddeko 4,100,000shs nga bwe 50,000shs ne 300,000shs nga bwe 20,000shs.

Elly Maate
Elly Maate

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti abasajja banno okwatibwa kigenda kuyamba nnyo Poliisi okunoonyereza abantu bonna abasasaanya ebikyupuli mu kitundu kyabwe.

Mungeri y’emu Maate alabudde abantu mu bitundu bye Kisoro okwegeendereza nnyo abafere abalina ssente empya kuba balina ebikyupuli bingi nnyo.