Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza abatemu abasse omutuuze Mugisha Jonas atemera mu gy’obukulu 55. Mugisha abadde mussomesa ku Rwanzu primary school era abadde mutuuze ku kyalo Gatobo, mu goombolola y’e Nyarubuye. Kigambibwa Mugisha, yatemuddwa nga yakava mu katawuni k’e Kisoro, okuggya ssente ku Mobile Money. Abamusse tebatute kintu kyona era omulambo gwe, gusangiddwako ebisago, amassimu […]
Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza abatemu abasse omutuuze Mugisha Jonas atemera mu gy’obukulu 55.

Mugisha abadde mussomesa ku Rwanzu primary school era abadde mutuuze ku kyalo Gatobo, mu goombolola y’e Nyarubuye.
Kigambibwa Mugisha, yatemuddwa nga yakava mu katawuni k’e Kisoro, okuggya ssente ku Mobile Money.
Abamusse tebatute kintu kyona era omulambo gwe, gusangiddwako ebisago, amassimu n’ensimbi enkalu, ekitabudde abatuuze.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula abakoze ekikolwa ekyo bonna bakwatibwe.
Mungeri y’emu Maate agambye nti bakutte Maniraguha James 27 mutabani w’omugenzi ku bigambibwa nti alina omukono ku nfa y’omussomesa.
