KITALO! 2 batiddwa mu bukambwe mu disitulikiti y’e Kabale, Poliisi eyogedde

©GALAXY

Poliisi y’e Kabale etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko abantu 2 okutemulwa. Abattiddwa kuliko Tuguminkirize Livingston myaka 32 abadde avugga bodaboda ku kyalo Ruhita ne Immaculate Kyarisima myaka 28 abadde omutuuze ku kyalo Rugarama nga bombi babadde batuuze mu gombolola y’e Buhara. Emirambo gyabwe gyasangiddwa ku kyalo Nyakyonga ebbali w’ekkubo nga gyona giriko ebiwuundu. Omwogezi wa Poliisi mu […]


Poliisi y’e Kabale etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko abantu 2 okutemulwa.

Abattiddwa kuliko Tuguminkirize Livingston myaka 32 abadde avugga bodaboda ku kyalo Ruhita ne Immaculate Kyarisima myaka 28 abadde omutuuze ku kyalo Rugarama nga bombi babadde batuuze mu gombolola y’e Buhara.

Emirambo gyabwe gyasangiddwa ku kyalo Nyakyonga ebbali w’ekkubo nga gyona giriko ebiwuundu.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti Pikipiki ya Livingston ekika kya Bajaj UEM 867W amangu ddala ng’attiddwa, yatwaliddwa kyoka Poliisi etandiise okunoonyereza.

Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika lye Kabale ng’okunoonyereza ku ttemu bwe kugenda mu maaso.